Zechariah 10

Mukama Alirabirira Yuda

1Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;
kubanga Mukama y’akola ebire
enkuba n’etonnya,
olwo buli muntu n’afuna ebirime.
2 aKubanga bakatonda abalala
n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;
ne baloota ebirooto eby’obulimba,
ne bagumya abantu eby’obulimba.
Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,
nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
3 b“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba
era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama ow’Eggye ajja
kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,
era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
4 cMu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,
muveemu n’enkondo enyweza weema,
muveemu n’omutego ogw’akasaale
era muveemu na buli mufuzi yenna.
5 dBonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo
abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.
Kubanga Mukama ali nabo,
balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.

6 e“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
nga be sseegaanangako
era ndibawulira
kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
7 fOlwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,
emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.
Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,
omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
8 gDdala ndibawonya
ne mbakuŋŋaanya.
Ddala ndibanunula,
baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
9 hNewaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,
naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.
Bo n’abaana baabwe baliba balamu
era ne bakomawo gye ndi.
10 iNdibakomyawo okuva mu Misiri,
mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
11 jBaliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;
ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,
n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.
Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu
n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
12 kNdibafuula ba maanyi mu Mukama
era nabo balitambulira mu linnya lyange,”
bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE